
Leero ennaku z’omwezi
zezo zennyini.
Essawa zezo
nga bwetwali tuzibaze.
Ekifo ssi ky’ekyo
kyetulina okubeeramu,
Kyetulina okubeeramu kiggale!
Ssinga kati tuli mu ketalo.
Ssinga ebipande buli wamu
nga munyera bibunye.
Amasimu ssinga kati
gavugira kumu.
Endagiriro ssinga kati zitandise.
Ebyuma ssinga kati biri ku
“mic check 1, 2”
Ebitontome ssinga tulimu ku biyisamu,
Essala abazisaba ssinga batandise,
“Katond atuyambe,
Enkuba tetonnya,
Jam abeere mutono,
Bonna betwayise baje,
Eno show twagala ekwateyo,
Bambituyambebaguleticket.”
Ebyali ebilubilirwa twabivako
twasigala kusaba bulamu.
Ebitontome tubiwandise
engalo kubula kukutuka.
“Show” zetwali twesunze,
“Omudidi”gwetwali twesunze okuyoola!
Ennaku!
Ennakuelumangaensawo
mw’oja tolina ky’ozzamu.
Ennaku elumanga ebifo
wewakoleranga obiyitako
biriko makufulu.
Ennaku elumanga mubutuufu
tomanyi oba embeera eriterera.
Ennaku eluma nga bwebogera ku ba
“essentialworker”erinnyalyo terisomebwa,
Naye nga bwebagamba
abantu okwewala “stress”,
Babalagira Kiwuliriza nnyimba.
Babalagira kulaba ffirimu.
Babalagira kusoma butabo nabitontome,
Ssinga tebyaliwo balikoze batya?
Ssentezagalwa
n’obulamu bwagalwa.
Naye obulamu bwebutandika
okusaba ssente nga naye ssente tozilaba,
Olwo obulamu bubeera tebugenze kuggwawo?
Abakuŋŋana nga netutesa,
tetukyasobola.
Abawandikanga ebitontome
nga tusaba gavumenti ekyusemunkola,
Kati naffe tusaba gavumenti etuyambe!
Leero ennakuz’omwezi
zezo zennyini.
Essawa zezo nga bwetwali tuzibaze,
Wabula nneyogezanzekka.
©NSUBUGAMUHAMMED (Nze)