Corona

Corona yajja tetweteegese.

Yakonkona akyali Wuhan, ne sibifaako.

Kati ekiddako sikitegeera.

Abalwadde okweyongera kimmalamu amaanyi.

Okumala emyezi nga twekuumye

Ate oluvannyuma ne twanika mu ttaka.

 

Eka watandise n’okuntama.

Emmere ngiridde enziggwako

Ate siyingiza kuba sikyakola.

Ndi mutontomi.

Ezange ziva mu bivvulu na butabo.

Byonna byesiba, omuggalo bwe gwaluma.

Ani agula akatabo nga alumwa enjala?

 

Obulwa ne gw’osaba nga buli

Gw’omanyi ali ku mavviivi.

Obwavu bunjokya, bungoya.

Njoya kimu kuddamu ssuubi.

Mpawamuka ne mu matumbi

Nga nnebuuza ebirooto kye bingasa.

Nkyayiiya, nkyawandiika.

 

Naye ennaku ezimu obunafu bumpasa.

Omwaka nga ngulaba gudduka.

Ebidduka ku makubo bizeeko

Wabula ntya n’okutambula.

Anti bangi masiki tebalina.

Akawuka bwe nkatomera!

Tetumanyi kugondera matteeka.

Paka nga embooko zitutuuse ku migongo.

Abakuumaddembe nabo basukka!

 

Buli kimu ebyasi ne bivaawo!

Tubula kubekweka mu bikunta.

Bwe tubalabako mu bitundu byaffe.

Obutabanguko mu maka…

Kutemagana mbale, kwawukana.

Osaasira abaana mu eno embeera.

Abamu basuulibwawo, ne babulwa alabirira.

Akawunga abakeetaaga baakafuna?

 

Kibi abakulembeze bwe beerowoozaako bokka

Songa be bafuga balina kusooka kukkuta.

Abato bayize n’emize egy’okweyimbamu emigwa.

Gavumenti yandifudde nnyo ku by’obulamu.

Si kulinda bigwa bitalaze ne tupapa.

Abasawo baweebwe emisaala egibagyamu.

N’ebikozesebwa tufube bibengawo.

Mu bibuga n’ewala eyo mu byalo.

 

Okunaaba mu ngalo kikolwa kyangu.

Ddala lwaki oba olinda okukugamba?

Abakadde tubayambe n’ebikozesebwa

N’obulwadde tubukuumire wala okuva gye bali

Anti emibiri gyaabwe gikosebwa nnyo.

Emisolo gy’omutimbagano giremesa nkumu.

Giyimirizibwe obubaka abantu bubatuukeeko.

Amawulire amafu!

Abagasaasaanya mbasaba mweddeko.

Muwabya n’okukubya bannamwe emitima

Ebitaliiko mitwe na magulu mubijja wa?

Zo ensimbi ezasoloozebwa zadda wa?

 

Abanoonyereza ku ddagala mwe mwebale

Osanga mulituwonya ekibambulira.

Tubeere beegendereza eyo gye tutambulira

Okuliranaagana n’okugwa bannaffe mu bifuba

Tulibiddamu nga obulwadde bukendedde.

Tonsemberera gwe mubala ogutugatta.

Tugoberere ebiragiro Corona aleme kututta.

Ssebo Lule